Ebyobulamu
abazaalisa beekalakaasizza
Ba naasi n’abazaalisa abasoba mu 130 olwaleero beekalakaasizza nga bakumba okuva ku ddwaliro ekkulu e Mulago okutuuka ku minisitule y’ebyobulamu
Ensonga ya musaala
Abasawo bano bagamba nti bamaze emyezi mukaaga nga tebasasulwa bukyanga bassa mikono ku ndagaano y’omwaka omulamba okukolera eddwaliro e Mulago.
Abasawo bano bagamba nti teri kigenda kubazza ku mirimu okutuuka nga bamaze okusasulwa ensimbi zaabwe
Wabula Minisita omubeezi akola ku byobulamu Dr. Elioda Tumwesigye asabye ba naasi bano okuwaayo okwemulugunya kwaabwe ensonga zaabwe zikolebweeko kyokka n’abasaba bade ku mirimu.