Ebyobulamu
Abazadde basobola okusala amasavu
Abasawo mu ggwanga lya Canada bagamba nti abakyala nga bamaze okuzaala batandika okukogga ng’abaana bawezezza emyezi esatu era nga kino kikoma ku mwaka gumu
Abakyala abalemererwa okukoggera mu bbanga lino oba abamu nebagejja baba bassa obulamu bwaabwe mu matigga
Abakyala bano batera okufuna puleesa ate abalala mitima ne sukaali
Abasawo era bagamba nti ssinga omukyala tasala bunene mu bbanga lino kiba kizibu okusala mu biseera by’omu maaso