Ebyobulamu
Abe Bukomansimbi tebalina mazzi
Bya Prosy Kisakye
Abatuuze mu district ye Bukomansimbi balaajana lwa bbula lyamazzi, nga kati enzizi zonna zaakalidde.
Eno amazzi kati gebalina gabidiba era makyafu, ngmagombolola agasinze okukosebwa kuliko Kitanda ne Bigasa.
Ssentebe wa disitulikiti eno Haji Muhamad Kateregga alambudde enzizzi, abatuuze kwebabadde basena amazzi nga zonna zakalidde.
Wano basabye ssentebbe ne gavumenti awamau okubadukirira mu bwangu.
Ssentebe Kateregga ategeezezza nga disitulikiti bwerina okusomozebwa kw’amazzi amayonjo, wabula nabagumya nga bwagenda okugezaako okukigonjoola.