Ebyobulamu

Abe Lwengo bajjanjabiddwa

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Health center

Abantu abasoba mu 500 mu disitulikiti ye Lwengo bajjanjabiddwa mu nkambi y’ebyobulamu ekubiddwa mu nkambi y’amaggye e Kasajjagirwa

Mu nkambi eno ebadde ku kisaawe e Kyazanga, abantu bakebereddwa n’okujjanjaba endwadde ezitali zimu ng’omusujja gw’ensiri, senyiga, emitwe, ebifuba, kko n’ekusomesa abakyala n’abaami kun kola z’ekizaala ggumba.

Omwogezi w’enkambi ye Kasajjagirwa Lt. Col.  Lwemijuma Ninsiima,agamba nti basinze kutunuulira abantu batasobola kwetusaako bujjanjabi

Yye RDC we Lwengo, Christopher Kalemba asiimye ab’amaggye olw’okuyamba okutumbula ebyobulamu mu disitulikiti ye Lwengo