Ebyobulamu
Abe Masaka bafunye ebyuma
Omu ku besimbyeewo ku bukiise bw’omubaka omukyala e Masaka awaddeyo ebikozesebwa mu malwaliro 2 nga bibalirirwamu obukadde 500..
Mary Babirye Kabanda nga era mukiise mu lukiiko okuva e Buddu y’awaddeyo ebikozesebwa eri eddwaliro lya Butende Health Center iiine Sunga health center iii gonna nga gali mu gombolola ye mukungwe .
Ebimu ku byuma ebiwereddwayo kuliko ebikebera sukaali n’ebipima puleesa.
Kabanda atagezezza nga bweyakola okunonyereza n’akizuula nga abantu mu kitundu kino bwebatalina bujanjabi buli ku mulembe kwekusalawo okubaddukirira.
Ye akulira eddwaliro lye Ssunga Health Center iii sister Madalena Nalubega ategezezza nga obutaba na byuma bwekikosezza enyo emirimu gyabwe.