Ebyobulamu
Abe Masaka bagaala nsimbi ndala
Ensimbi ezitamala zikyamesezza enteekateeka z’okutumbula empereeza ey’omulembe eri abalwadde mu ddwaliro lye Masaka
Ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku mbalirira y’ensimbi z’omuwi w’omusolo, addukanya eddwaliro lye Masaka , Dr Florence Tugumisirize agambye nti wadde balina abalwadde bangi, ebikozesebwa bitono nga n’abakozi batono
Tugumisirize agambye ku basawo 30 beebetaaga, balinako 10 bokka
Ateeezezza nti oluusi babulwa n’ezisasula amazzi n’amasanyalaze
Ono agamba nti ebintu okutereeramu betaaga akawumbi kamu n’ekitundu mu kifo ky’obukadde 800 ezibaweebwa