Ebyobulamu
Abe Mbale basasula mpewo
Akakiiko ka palamenti akakola ku mbalirira y’ensimbi y’omuwi w’omusolo kakunyizza abakungu okuva mu ddwaliro e Mbale olw’ebigambibwa nti babadde basasula abasawo b’empewo.
Kiddiridde omubazi w’ebitabo bya gavumenti okulaga nti ensimbi eziweza obukadde 19 zaweebwa abakozi abataliiyo
Ssentebe w’akakiiko kano Alice Alaso agambye nti kyannaku nti gavumenti yafiirizibwa ensimbi empitirivu ng’ezo nga gavumenti terina ky’ekoze
Alaso alagidde abakulira akakiiko kano okununula ensimbi zino oba ssi kkyo bakuzisala ku misaala gyaabwe