Ebyobulamu
Abe Mulago bassizzaamu ebyuma
Ab’eddwaliro lye Mulago batandise okussa ebyuma by’omulembe mu ddwaliro
Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago Enoch Kusaasira agambye nti bafunye ekyuuma kya sikaani ekibadde kibafuukidde ensonga nga kati kikola n’ebyuma ebirala.
Ensimbi ezikozeseddwa okugula ebyuuma zeezimu ku bukadde 40 eza doola ezeewolebwa okuddabiriza eddwaliro lino.
Kusaasira agambye nti bbyo eby’okuddabiriza eddwaliro bitambula bulungi nga bali kumpi okumala ebizimbe ebibiri byebasookerako
Ono wabula agambye nti basanze obuzibu olw’abalwadde abangi bebafuna ate nga tebalina webabakolerako.