Ebyobulamu
Abe Namungoona bakyaali bubi
Abantu abaakosebwa omuliro gwe Namungoona bakyaali mu mbeera mbi.
Babiri ku bbo tasuletasulewo y’ali ku mitima gy’abajjanjabi n’abalabi
Akulira eddwaliro elikola ku b’omuliro, Dr Robert Ssentongo agamba nti abantu bano ababiri ebiwundu byaabwe byamaanyi era bakyelarikiriza
Ssentongo agamba nti wabula obuzibu bwebafunye bwa bakozi abatono ku bantu abayi abeetaga obujjanjabi buli kaseera
Yye omusawo wa poliisi, Moses Byaruhanga agamba nti emirambo 2 teginnabaako aduukirira nga balinze kugyekebejja ssaabiiti ejja.