Ebyobulamu
abe Wankulukuku tebalina kabuyonjo
Abatuuze be wankulukuku wano mu kampala basabye ekitongole kya KCCA okuyamba okusomesa abantu baabwe ku by’obuyonjo okusobola okwewala endwadde eziva ku bukyafu.
Kino kiddiridde aba KCCA okukeera okugenda okuyonja ekitundu kino wabula abasinga babadde bamanyi bagenze kubamenya era nebesamba okubakwatizaako.
Kati omu ku bakulira eby’obulamu mu kitundu kino Fred Mayanja ategezezza nga abantu abasinga bwebaviira ddala ku bulungi bwansi sso nga wamugaso nnyo mu kutumbula eby’obulamu.
Mayanja agamba KCCA esaana okuteekawo emisomo egikwata ku by’obulamu okusobola okusomes abatuuze engeri y’okukuumamu ekitundu kyabwe nga kiyonjo.