Ebyobulamu
Ab’ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna bogede ku eboola
Ab’ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna bategezezza nga bwebafunye eky’okuyiga oluvanyuma lw’ekirwadde kya Ebola okulumba amawanga agamu naddala mu Africa.
Ebola yalumba Africa mu mwezi ogwokusatu omwaka oguwedde n’atirimbula abantu abasoba mu mutwalo okusinga mu ggwanga lya Guinea, Sierra Leone ne Liberia.
Bingi ebikoleddwa okulwanyisa ekirwadde kino okuli n’okukola eddagala erikyagezesebwa.