Ebyobulamu
Ab’embuto abafa beeyongedde
Abakyala bakyasanga obuzibu okufuna byebetaaga nga bali embuto ekyongedde omuwendo gw’abafa
Bannakyeewa abali mu byobulamu by’abakyala n’abaana bagamba nti abakyala 17 beebafa buli lunaku ate nga bwegutuuka ku baana abawerera ddala 282 beebafa buli lunaku olw’obutafuna ddagala
Omu ku bakulu mu mukago gwa bannakyeewa mu byobulamu Esther Nasikye agamba nti amalwaliro agasinga naddala ag’omubyaalo ,teri ddagala liweebwa bakyala bazadde n’abaana abakazaalibwa
Nasikye agamba nti bino ssinga bikyuuka n’abakyala nebagenda mu malwaliro, omuwendo gw’abakyala n’abaana abafiira mu sanya gwakukendeera