Ebyobulamu
Ab’embuto basabiddwa okwekebezanga endwadde zo’mukamwa
Bya Benjamin Jumbe
Ba maama abembuto bajjukizddwa, bulijjo okugendanga okwekebeza endwadde ezomukamwa.
Okuwabula kuno kukoleddwa Dr. Muhammad Mbabali omusomesa okuva ku ttendekero e Makerere, ngategezeza nga kino bwekiyamba endwadde zimu obutakwata mwana atanazalibwa.
Agamba nti endwadde zimu zabulabe, nnyo eri abaaana nga ziyinza nokubavirako okufa, oba nembuto okuvaamu.
Ono agamba nti banan-Uganda 90% balina obukyafu mu nkamwa, nga kiva ku buligo.