Ebyobulamu
Ab’endwadde ezitawona tebaggwaamu ssuubi
Abantu abalina endwadde ezitawona basabiddwa obutaggwaamu ssuubi bagende mu malwaliro okufuna obudabuudibwa
Omukulu mu kibiina kya Hospice Africa Uganda, Dr. Eddie Mwebesa agamba nti obujjanjabi buno buzze buleetebwa amalwaliro agatali gamu kyokka ng’abalwadde bano abagendayo batono ddala.
Dr. Mwebesa agamba nti abalina endwadde nga mukenenya beetaga okuyambako ennyo .