Ebyobulamu
Ab’omwenge bagenze mu malwaliro
Abasogozi b’omwenge batandise kawefube w’okubangula abantu ku kabi akali mu kunywa ennyo omwenge mu malwaliro.
Omukulu mu kkampuni ya Nile Breweries Onapito Ecomoroit agamba nti kampeyini eno bagisoosezza mu bakyala abali embuto okulaba nti tebanywa mwenge kubanga gwa bulabe eri omwana.
Kawefube eno bagenda ku mutuusa mu malwaliro gonna amanene mu ggwanga.
Atwala eddwaliro lye Naguru Dr Edward Nadumba agamba nti abakyala bangi abali embuto banywa omwenge ekikosa abaana era nga beetaga okubangulwa buli lunaku ku nsonga eno.