Ebyobulamu

Akafuba- abasoba mu 6000 bakafuna buli mwaka

Ali Mivule

March 24th, 2014

No comments

TB patient

Okunonyereza kulaze nga Bannayuganda abasoba mu 6000 bwebakwatibwa ekirwadde ky’akafuba buli mwaka.

Kino kibikuddwa minisitule y’eby’obulamu nga eggwanga ly’etegekera okukuza olunaku lw’abalwadde b’akafuba.

Omwogezi wa ministry eno  Rukia Nakamatte agamba singa tekikoleddwako mangu, bangi bakomekereza bakisiize abalala.

Ebikujjuko by’omwaka guno byakukuzibwa mu district ye Iganga okwongera okubulirira abantu akabi akali mu kirwadde kino kubanga kitta bannayuganda nga 4000 buli mwaka wano mu uganda.