Ebyobulamu
Akafuba- Abe Iganga basetuuse
Abasawo mu distuliki ye Iganga bali mu kucacanca oluvanyuma lw’okukizuula nti abantu abekebeza obulwadde bw’akafuba beeyongeredde ddala
Abaddukanya distulikiti eno bagamba basobodde okuzuula abantu 50 abalina akafuba ekibadde kitasoboka luli nga bazuulayo abantu 10 bokka
Akulira ekiwayi ekirwanyisa obulwadde buno mu district eno, Joseph Iga kino akitadde ku kubangula kwebongedde okukola mu bantu
Ono agamba nti balina n’enkola kati nga buli muntu agenda okufuna eddagala lya mukenenya bamuwa eddagala ly’akafuba.