Ebyobulamu
Akafuba kangi mu balina mukenenya
Minisitule ekola ku byobulamu mu ggwanga yenyamidde olw’omuwendo gw’abantu abalina obulwadde bwa mukenenya abalina akafuba
Okusinziira ku minisitule no, buli balwadde b’akafuba 10 , bataano oba musanvu baba balina ne siriimu
Omwogezi wa minisitule y’ebyobulamu Rukia Nakamatte agamba nti abalwadde abasinga batuuka mu malwaliro nga buyise kale nga kitono eky’okuzza
Nakamatte kyokka agamba nti tebatudde nga bakola kyonna ekisoboka okukyuusa embeera
Olunaku lw’akafuba lukuzibwa olunaku lw’enkya mu nsi yonna ng’emikolo gyakubeera Iganga wano mu Uganda
Mu Uganda, abantu 4,000 beebafa akafuba buli mwaka.