Ebyobulamu

Akawuka ka Ebola kakyuuse

Ali Mivule

January 29th, 2015

No comments

Ebola

Banasayansi  abalondoola ekirwadde kya Ebola mu ggwanga lya Guinea bategezezza ng’akawuka akaleeta ekirwadde kino bwekatandise okukyuuka mu nkula yaako.

Abakugu bano ku ttendekero lya  Pasteur mu ggwanga lya Bufaransa baagala kati kumanya oba akawuka kano kati keyongedde amaanyi mu kukwata okuva ku Muntu omu okudda ku mulala.

N’okutuusa kati  bannasayansi bano bakyekebejja omusaayi gw’abalina ebola okubaako neddagala eryamanyi okujanjaba ekirwadde kino

Ebola yakatta abantu abasoba mu 8000 n’okukwata abasoba mu 20000 okusinga mu mawanga okuli  Guinea, Sierra Leone ne  Liberia.