Ebyobulamu

Akawuka ka siriimu kanafuye

Ali Mivule

December 2nd, 2014

No comments

HIV weaker

Bannasayansi bazudde nti akawuka ka mukenenya kazze kanafuwa nga kati tekakyatta nga luli era nga ssi nakyangu kukwata mangu

Abazudde bino beeba Yunivasite ya Oxford eraga nti akawuka kano kanafuye

Akawuka kano era kalwaawo kati okunafuya omuntu nga bano bagamba nti kino kyakuyamba nnyo ku lutalo ku mukenenya.

Bano bagamba nti emyaka gyeginajja giyitawo, akawuka kano kakugweeramu ddala amaanyi.

Abantu abasoba mu bukadde 35 beebalina obulwadde bwa mukenenya mu nsi yonna.