Ebyobulamu
Akawundo akatambuza obulwadde
Abasawo mu ggwanga lya Saudi Arabia bazudde ekirwadde kya senyigga w’ebinyonyi ekyomutawaana nga kino kiva ku kawundo.
Abakugu bagamba nti akawundo kano kaava mu gwanga lya misiri ekirwadde kino gyekasooka okuzuulibwa.
Wabula wadde nga abakugu basanze ekirwadde kino mu kawundo, tebakakasa oba obuwuundo bwebuviirako ekirwadde kino okusaasanira mu bantu.
Bano bagamba nti ekirwadde kyandiba nga eno kisasanyizibwa ebisolo ebirina ebiwaawatiro.