Ebyobulamu
Ali olubuto, tokwata ku mwenge
Abakyala abagaala okufuna embuto oba abalina ento ezitasukka myezi esatu basaanidde ddala okwewala okukomba ku kigambo mwenge
Bannasayansi okuva mu ttendekero lya Royal College of Obstetricians and Gynaecologists erisangibwa mu Bungereza.
Bano beebamu baali bategeeza nti tewali buzibu ssinga omukyala bw’ati anywaako katono ku mwenge gw’ekika kya Wine
Bano kati bagamba nti engeri yokka ey’okutaasa omwana kwekwewalira ddala okukomba ku mwenge
Ebigambo bya bano bikwataganye n’ebya bannasayansi abava mu ttendekero lya National Institute for Health and Care Excellence (NICE).