Ebyobulamu
Amaaso ku bali mu bulabe bw’okufuna siriimu
Akakiiko akakola ku bulwadde bwa mukenenya kateekateeka kuvaayo n’enkola empya ezitunuulidde abantu abali mu bulabe okufuna obulwadde bwa mukenenya.
Ssentebe w’akakiiko kano Prof Vinand Natulya agamba nti bakizudde nti abantu bano okuli abavubi, bamalaaya n’aba bodaboda beebasinga okutambuza obulwadde.
Prof Natulya agamba nti kati bagenda kunyikiza enkola y’okukebera abantu bano nga bonna abasangibwa n’obulwadde bakussibwa ku ddagala
Bino biddiridde alipoota eyafulumiziddwa okulaga nti yadde siriimu akendedde, mu bantu nga bano akyaali waggulu