Ebyobulamu
Amalwaliro e Mubende gasumusiddwa
Bya Magembe Sabiiti
Ministry ye by’obulamu eriko amalwaliro gesumusizza okuva ku mutendera gwa health center 11 okudda ku Heath center 111 mu district ye Mubende.
Ssentebe wakakiiko ke by’obulamu ku lukiiko lwa district ye Mubende Lubowa Deo akakasizza okusumusibwa kwamalwaliro gano okuli Butawata health center 11 mu gombolola ye Kigando ne Butoloogo Heath center 11 agafuliddwa Heath center 111.
Kati akakasizza ngensimbi ezigenda okweyambisibwa mu kuzimba amalwaliro gano okutukana ku mutindo bwezamaze okutuuka ku Account ya district, ngakadde konna omulimu gwokuzimba gwakutandika.