Ebyobulamu
Amalwaliro gafa
Embeera y’amalwaliro ennyika emitima yandivaawo mu kaseera akatali ke wala
Ministry y’ebyobulamu etegeezezza nga bw’egenda okuddabiriza amalwaliro gonna agali mu mbeera embi
Yakutandika n’amalwaliro 13 okwetoloola eggwanga
Mu malwaliro agagenda okuddabirizibwa mwemuli erye Iganga, Kawolo, Mityana, Nakaseke , Entebbe grade B n’amalala
Omwogezi wa ministry eno Rukia Nakamatte agamba nti nga bamaze okuddabiriza amalwaliro gano, bakussaamu ebikola omuli n’eddagala.
Kino kizze nga tewannayita na lunaku ng’omubaka we Iganga akwatiddwa lwakwekalakaasa olw’embeera y’eddwaliro embi