Ebyobulamu
Amalwaliro gakuddabirizibwa
Minisitule y’ebyobulamu etegezezza nga bw’etadde ku mwanjo eky’okuddabiriza amalwaliro mu disitulikiti ezenjawulo mu mwaka gw’ebyensimbi guno.
Omuwandiisi wenkalakalira mu minisitule eno , Dr. Asuman Lukwago agamba essaawa yonna eddwaliro ly’e Mulago lyakutandika okuddabirizibwa ssaako n’amalala agali mu mbeera embi nga mu disitulikiti endala.
Batuunulidde amalwaliro ge Moroto, Mityana ne Entebbe n’amalala.