Ebyobulamu

Amalwaliro gakuddabirizibwa

Ali Mivule

April 1st, 2014

No comments

hospital in masindi

Minisitule ekola ku byobulamu mu ggwanga amaliriza okutegeka ettaka kw’egenda okuzimba amalwaliro omwenda  mu kawefube w’okukendeeza omujjuzo mu galiwo

Omwogezi wa minisitule y’ebyobulamu, Rukia Nakamatte agamba nti omulimu guno gwtandika omwaka oguwedde era nga gwakumalawo obukadde bwa doola 59

Nakamatte agamba nti buli kimu bakikwasizza ba contulakita era nga buli kimu kiri mulaala

Amalwaliro omwenda agagenda okuzimbibwa gali Moroto, Mityana, Nebbi, Anaka, Entebbe, Kirydongo, Moyo, Nakaseke ne Iganga.

Ensimbi endal era eziweza obukadde 90 eza doola zkaukola ku kuddabiriza amalwaliro 11 n’obulwaliro bwa health center 4, 27