Ebyobulamu
Amalwaliro temuli musaayi
Ebbula ly’omusaayi kikyaali kizibu kya maanyi mu malwaliro agasinga
Eno y’ensonga lwaki abantu bakubirizibwa bulijjo bagabe nga omusaayi okumalawo ekizibu kino
Olwaleero unit z’omusaayi 100 zeezikunganyiziddwa ku Datamine technical business school.
Akulira ettendekero lino, Deo Nyanzi agamba nti omusaayi guno gugenda kutwalibwa mu malwaliro agali mu bwetaavu.
Ono asabye abantu okwongera okugaba musaayi