Ebyobulamu
Amasavu gagezza abaana
Abakyala abalya ebintu ebirimu amasavu nga bali embuto basaanye okuwulira bino.
Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti buli mukyala lw’alya ebisava bikosa obwongo bw’omwana ekivaamu ye mwana okugejja ekisukkiridde ng’akuze
Okunonyereza kuno bakukoze ku mmese era nga kulaze akakwate wakati w’abazadde abanene okuzaala abaana abanene.
Obunene bufuuse ensonga naddala mu mawanga agaakula edda kyokka nga buno era kituufu nti buva ku ndya embi ng’abantu ennaku zino bettanira nnyo emmere ensava