Ebyobulamu

Amasira geegabatta

Ali Mivule

July 4th, 2013

No comments

Victims Namungoona

Abakugu mu byobulamu bagamba abantu abaafuna akayokebwa omuliro wali e namungoona bafa lwakuggwamu mazzi.

 

Akulira etendekero erinoonyereza ku nddwadde  Dr Alex Coutinho agamba oluvanyuma lwomuliro okuyingira mu mibiri gyaabwe, abalwadde bano baafirwa amazzi manji mumubiri era kwekutondoka.

 

Bino abyoogedde  etendekero lino liwaayo ebikozesebwa mu kujanajaba wali mu ddwaliro ekulu e Mulago.

 

Mubino mubaddemu namaganduula gabasawo agasoba mu 100 saako nekyuma ekinuuna amzzi mumubiri nga kino kyakuyamba okunuuna amazzi  amakyaafu mumibiri  gyabantu bano.