Ebyobulamu
Amawanga ga kirimaanyi tegayambye nnyo ku Ebola
Amaggye gasaanye okuyingira mu lutalo ku bulwadde bwa Ebola okwetoloola ensi yonna.
Abakoze okusaba beeb’ ekibiina kya medicine Medecins Sans Frontieres.
Bano balumbye abakulembeze mu nsi yonna obutakola kimala kulwanyisa Ebola
Ekibiina kino amawanga ga nagwedda gasuddeyo gwa nnagamba okuyambako amawanga g’obugwanjuba mu kulwanyisa obulwadde buno.
Abantu abasoba mu 1550 beebakafa bukyanga bulwadde buno bubalukawo mu ggwanga lya Guinea ku ntandikwa y’omwaka
Abantu abali mu 3000 beebalina obulwadde buno ng’ekibiina kyensi yonna eky’ebyobulamu kigamba nti abantu abali mu 20,000 beebali mu bulabe bw’okufuna obulwadde buno