Ebyobulamu
Amayumba g’abasawo gasemberedde okuggwa
Omulimu gw’okuzimba enyumba z’abasawo be Mulago gusemberedde okuggwa
Enyumba zino zakuyamba okutereeza empereeza mu ddwaliro e Mulago kubanga bangi bava bweru, ekikalubya emirimu gyaabwe
Yinginiya wa minisitule y’ebyobulamu Henry Matega agamba nti enyumba 100 zeezigenda okusooka okumalibwa kyokka ng’ekigendererwa kyaabwe kya nyumba 2000 ezijja okukomekkerezebwa mu myaka 10 egijja
Eng Matega agamba nti enyumba ezinaatera okuggwa zeezo zebatandikako mu mwaka 2013 nga zigenda kuggwa mwaka gujja
Enyumba zino zigenda kubeera za mulembe nga zirimu ne yintaneeti okuyamba abasawo okumanya ebigenda mu maaso mu nsi yonna.