Ebyobulamu
Ani yayogera kalebule
Gavumenti etandise okunonyereza ku lugambo olwayita mu bitundu bye Kasese nti amazzi gaali gassiddwaamu obutwa
Bino byogeddwa minister omubeezi akola ku by’ebyuma bikali magezi, Nyombi Thembo ategeezezza nga kino bwebakikoze oluvanyuma lw’omubaka omukyala ow’ekitundu kino ensonga okugituus amu palamenti
Nyombi agamba nti ministry eno neerarikirivu era nga ssinga kizuulibwa nti kituufu, abantu abakoze ekikolwa kino bakuvunaanibwa
Wabula Nyombi agamba nti okwemulugunya nga kuno kulina kunonyerezebwaako ab’akakiiko akakola ku byempuliziganya
Omuntu yyenna asingisibwa omusnago gw’okubunya amwulire amafu akaligibwa emyezi 48 oba okuwa fine ya mitwaalo 60