Ebyobulamu
ARVs zikyusiddwa
Ekitongole ekikola ku by’eddagala ekya National drug authority kireese amakerenda agaweweeza ku bulwadde bwa Mukenenya nga gano galiko akabubi ka sukaali
Kiddiridde abantu okwemulugunya nti eddagala eribadde ku katale libadde likaawa era nga bangi babadde balyesamba
Omwogezi w’ekitongole kino, Fred Sekyana agamba nti eddagala lyebaleese bamaze ookulibunyisa mu malwaliro ga gavumenti era ng’abantu tebajja kuddamu kufuna buzibu
Eddagala lino limiribwa omuntu alina akawuka akaleeta mukenenya buli lunaku