Ebyobulamu

Asatu batendekeddwa mu by’obulamu by’abakyala.

Ivan Ssenabulya

July 7th, 2018

No comments

ByaNsereko Balikuddembe.

Abantu abasoba mu 31 bebafunye amabaluwa mu byobulamu eby’a bakyala [Reproductive Health] okuva mu tendekero elya Nsamizi Training Institute of Social development e Mpigi.

Bwabadde okwasa abantu bano amabaluwa, akulira etendekere ly’ebyobulamu e makerere elya (Public Health), Dr.Rhoda Wanyenze) agambye nti wabaddewo obwetavu bw’abantu abakuguse mu nsoga z’abakyala, kale kyabavudde basazeewo okukolagana ne Nsamizi institute okusomesa abantu okuva mu bitongole eby’enjawulo.

Bano bamaze  omwezi gumu ne week emu nga batendekebwa.

Bano bakuguse mu bintu nga okumalawo obutabangugo mu maka, eddwade ezitawanya abakyala, engeri y’okukendeeza ku bakyala abafiira mu sanya n’ebirala bingi.

Atwala etendekero lino elya Nsamizi Dr.Charlse Kalyesigye agambye nti omwaka guno wegunagwelako nga batendese abantu abasoba 400, n’asaba abafunye amabaluwa okulwaninira eby’obulamu byabanakazadde be gwanga nga batukira ddala eyo mu byaalo ewali abantu abetaaga obuyambi.