Ebyobulamu

Aspirin akola ku kokoolo

Ali Mivule

August 7th, 2014

No comments

aspirin

Okumira eddagala lya Aspirin okumala ebbanga eddene kiyamba okukendeeza ku bulabe bw’omuntu okufuna kokoolo w’ebyenda

Mu ngeri yeemu era Aspirin ono ayamba ne ku kokoolo w’emimiro

Abanonyereza bagamba nti omuntu bw’amira Aspirin okumala emyaka 10 kimuyamba obutafa kokoolo w’ebika ebyo okumala ebitundu 35 okutuukira ddala ku 40 ku buli kikumi

Abanonyereza bano bagamba nti omuntu okufunamu aba alina okumira doosi ya Aspirin buli lunaku okumala emyaka etaano.

Okunonyereza bano kwebakoze kulaga nti Aspirin takola ssinga omuntu amumira okumala emyaka 3 oba etaano