Ebyobulamu
Aspirin akubisa entunnunsi
Abasawo balabuddwa ku kumala gawa abalwadde empeke za Aspirin.
Ekiwandiiko okuva mu ssomero ly’abakugu ku byobulamu erya National Institute of Health and Care Excellence kitegeezezza nga Aspirin bw’alimu ebirungo ebireeta entunnunsi era nga bwegutuuka ku Muntu alina obulwadde bw’omutima asobola okufa ekikutuko
Bagamba nti omuntu okuweebwa Aspirin alina okusooka okwekebejjebwa okukakasa nti omutima gwe teguliiko buzibu bwonna.
Aspirin ono era abasawo bamugaana abali embuto nti wabulabe.