Ebyobulamu
Ba maama abato beebaviirako abaana baabwe okufa
Abaana abazaalwa abakyala abali wansi w’emyaka 30 batera okufa okwawukanako n’abo abazaaliddwa bannaabwe abakulu
Okunonyereza kuno kukoleddwa okumala emyaka 20 nga kizuuliddwa nti abakyala ababeera abato baba babulabe eri abaana baabwe
Abanoonyerezza bano bagamba nti ba maama abato beetaga nnyo okuyamba okumanya abaana baabwe nebasobola okubalabirira obulungi nga banaabwe abakulu.
Ba maama bangi tebamanyi kulabiria baana nga beebabaviirako okufa
Okunonyereza kuno kwakoleddwa ab’essomero ly’abaana mu ggwanga lya Bungereza elya UCL
Bano babade banoonyereza ensonag ezivaako abaana okufa.
Batuunulidde abaana okuva mu mwaka gwa 1980 okutuuka mu mwak agwa 2010