Ebyobulamu
Bakubaganye empawa
Gavumenti ekubaganye empawa ku by’omusujja oguva ku nkwa ogumanyiddwa nga Congo Crimean fever.
Yadde nga waliwo abantu abalala bana abaakakasiddwa okufuna ekirwadde kino, ate minister akola ku byobujjanjabi ebisookerwaako, Sarah Opendi agamba nti tewali muntu mulala era nga bafunye okutaayiza obulwadde buno obutagenda mu bitundu birala.
Opendi agamba nti bukyanga bulwadde buno bubalukawo ssabiiti bbiri emabega Ministry y’ebyobulamu akakasizza nti omusujja oguva ku nkwa basobodde okugutayiiza obutabuna bitundu birala.
Kino akitadde ku kusomesa bantu ku kirwadde kino n’okwongera okwekeneenya abo abaali bateberezebwa okuba nga bafunye ekirwadde.