Ebyobulamu
Bakusisinkana spiika ku mukenenya
Akakiiko akakola ku kulwanyisa obulwadde bwa Mukenenya kakusisinkanamu sipiika wa palamenti ku tteeka eryakayisibwa ku mukenenya.
Akulira akakiiko kano Prof Vinand Natulya agamba nti etteeka lino teryetaagisa kubanga lyakukonya olutalo ku mukenenya.
Natulya agamba nti bagenda kukolagana n’ebibiina by’obwa nekyeewa ebirala okwongera okuwayaamu ne sipiika kko ne pulezidenti Museveni ku butassa mukono ku tteeka lino.
Yye akulira ekibiina ky’amawanga amagatte ekikola ku bulwadde bwa Mukenenya Musa Bugundu agamba nti etteeka lino ligenda kwongera okutiisa abantu n’okutangira abalala okwekebeza Palamenti omwezi oguwedde yayisa etteeka erikaliga abo abatambuza siriimu mu bugenderevu.