Ebyobulamu

Banakyewa baagala sigala ayongerweko omusolo.

Banakyewa baagala sigala ayongerweko omusolo.

Ivan Ssenabulya

September 10th, 2018

No comments

Bya Ndaye Moses.

Ebibiina by’obwanakyeewa ebirwanyisa okukomonta segereti bisabye gavumenti nate okwongera ku musolo gw’etaka ku taaba, kino kyongere okukendeeze kubamukozesa.

Bano bagamba nti government egwana egoberere ekyalagirwa ekibiina ky’amwanga amagatt nti taaba atekebweko omusolo gwa bitundu 70%.

Kati twogedeko naakulira ekibiina ekya Uganda National Health Consumer’s Organization Robinah Kaitiritimba, naagamba nti singa okukozesa sigala tekufibweko nebirwadde ebikambwe nga kookolo byakusigala nga bitigomya egwanga.

Ono agamba nti okunywa sigala kufiiriiza gavumenti  ensimbi  ezisoba mu buwumbi  320, kale nga zino zisinga nemumagoba getujja mu sigala  ono