Ebyobulamu
Bannakyewa sibasanyufu n’okwokya edagala okugenda okukolebwa.
Bya Shamim Nateebwa.
Ebitongole by’obwanakyeewa ebirondoola embalira ye gwanga wansi wa civil Society Budget Advocacy Group bategeezeza nga bwebadiwalirizibwa okutwala okwemulugunya kwabwe mu parliment nga bawakanya eky’okuleka edagala nerikadiyira mu materekero ga gavument kyoka nga abelyetaga bangi.
Bano okuvaayo kidiridde minisitule ekola ku by’obulamu okutegeeza nga bwewaliwo edagala eriwereza dala tone nga 1500 ezigenda okwokebwa .
Bwabadde ayogerako ne banamawulire Julius Mukunda nga yaakulira ekibiina kino agambye nti newankubadde edagala liriwo kukuuma bantu, naye n’ensimbi ezigenda okuteekebwa mu kulyokya zeetaga okutunulwamu.
Kati bano baagala okumanya lwaki edagala lituuka okukadiyira mu materekero kyoka nga abalyetaga weebali.
Wabula gyebuvudeko abakulu okuva mu kitongole ekitereka edagala ekya National medica stores baatugamba nti kyabulijjo edagala okuyitako, songa lino lyebagenda okwokya litutte ebanga balikunganya sosi nti lya mwaka gumu.