Ebyobulamu
Bannamateeka bakuwawaabira gavumenti ku by’omusolo.
Bya Damali Mukhaye.
Banamateeka abegatira mu kibiina ekya Uganda law society bategeezeza nga bwebagenda okwewerekera bagenda mu kooti okuwawabira government olw’okuteeka omusolo ogumenya amateeka kubanna- uganda.
Bano bagamba nti omusolo ogwa nusu 200 ku bakozesa social media ne shilling 1% ku mobile money kunyigiriza kwenyini, kale nga wano kooti yerina okulamula.
Bwabadde eyogerera mukutongoza Alipoota ekwata ku nfuga etambulira ku mateeka , president w’ekibiina kino Simon Kinobe agambye nti omusolo guno gulimu okusoolooza abantu okusuka omulundi ogumu, kyoka nga kimenya mateeka.
Ono agamba nti ensimbi zino eza mobile money zigaba bantu ba mufuna mpola, kale nga okubasaako omusolo omukambwe bweguti kikyamu, era nga bagenda kukiwakanya.