Ebyobulamu
Bannayuganda balabuddwa ku malwaliro ga gavumenti
Bannayuganda bonna balabuddwa okweyuna amalwaliro ga gavumenti mu kwekebeza siriimu.
Akulira okunonyereza ku kitongole ku ttendekero ly’e Makerere ekya Walter Reed Project Doctor Francis Kiweewa ategezezza nga ebyuma ebisinga mu malwaliro g’obwananyini bwebizuula akawuka kano nga ebbanga liyiseko sso nga ebya gavumenti bikazulirawo.
Dr Kiweewa ategezezza nti n’abasawo mu malwaliro ga gavumenti bekenenya buli mutendera sso nga mu g’obananayini banguyiriza kale nga kyangu okufuna ebivudde mu musaayi ebifu.