Ebyobulamu
Bannayuganda bangi banyigirizibwa ku bwongo
Abanonyereza mu Uganda bagamba nti okunyikirizibwa ku bwongo buzze kweyongera era nga gavumenti ekeekadde efe ku buzibu buno.
Omukugu okuva ku John Paul II Justice and Peace Centre Kamilla Krygieragamba nti ebizibu mu bannayuganda byeyongera buli lukya mu bulamu bwa bulijjo n’enfuna yaabwe nga kino kyekivuddeko okunyigirizibwa oba okulowooza ennyo.
Kino akitadde ku bwavu n’ebbula ly’emirimu ng’abantu obulamu batetenkanyabutetenkanye
Ono agamba nti abantu bandibadde balabulwa ku bubonero kw’alabira nti ayitirizza okunyigiriza obwongo.
Bino bibadde biri biti mu ggwanga lya Bungereza, abakugu nebazuula nti eddagala erimanyiddwa nga Ketamine liyamba okuwonya okunyigirizibwa kuno
Bamaze n’okuligezesa ku bantu 28 era ng’abalwadde bawonye mu mwezi gumu.
Abakugu bagamba nti eno egenda kubeera ntandikwa ku buzibu buno obw’okunyigirizibwa ku bwongo.
Kigambibwa nti ku buli bantu kkumi b’osanga,omu abeera anyigirizibwa ku bwongo.