Ebyobulamu
Bannayuganda bazaala nnyo
Abakugu mu nsonga z’emiwendo gy’abantu balaze okutya nti nga tewabaddewo kukoma ku bakyala kuzaala, omuwendo gw’abantu gwandikubisibwaamu emirundi 2.
Kino kiddiridde ababaka abamu mu palamenti okuwakanya etteeka elikwata ku miwendo gy’abantu saabiiti ewedde
Akulira ekitongole ekikola ku nsonga z’emiwendo mu ggwanga Charles Biremera agamba nti etteeka lino lyaali lyakuyambako okulaba nti omuwendo gw’abantu ababeerawo gubeera nga gusobola okwerabirira
Biremera agamba nti Uganda yeemu ku mawnaga agalimu abakyaala abazaazi.
Ono era alabudde nti n’abawala abafuna embuto nga bakyaali bakweyongera olw’ensonga nti abaana abazaalwa bajja kubeera tebasobola kulabirirwa ggwanga bafuuke bakyetwala
Mu kadde kano Uganda eteberezebw aokubaamu abantu obukadde 34