Ebyobulamu

Basayansi bafunye essuubi ku mukenenya

Ali Mivule

July 22nd, 2014

No comments

HIV

Bannasayansi bagambanti basemberedde okutuuka ku kuzuula eddagala lya Mukenenya nga lino likwekulayo akawuka yonna gyekaba kekweese

Kiddiridde abasawo bano okuzuula nti ensonga lwaki siriimu abadde muzibu okuwonyezebwa yensonga nti bw’akwata omuntu amusensera mu buli kanyomero era ng’afuuka ekimu ku bikola omusaayi gwe.

Wabula okunonyereza okukoleddwa ku bantu mukaaga abalina mukenenya mu lukiiko lw’abakugu ku mukenenya kuleese essuubi nti ssinga omuntu akalirirwa nga bw’olaba eddagala lya kokoolo bwerikola, omuntu obulwadde busobola okumuggwaamu

Abakugu bano bagamba nti eno ntandika nnungi kyokka ng’abasawo bano bagamba nti eddagala lino terisobola kukola lyokka nga lyetaaga eddala.

Eddagala eriweweeza ku bulwadde bwa mukenenya linafuya akawuka era nga liwadde bangi essuubi kyokka nga terimala