Ebyobulamu
Baweereddwa ebikozesebwa
Abatuuze mu disitulikiti ye Lira bakubiddwa enkata y’ebikozesebwa mu malwaliro ebibalirwamu obukadde 20 okuva eri ekibiina kya Planned Parenthood Federation.
Bino kuliko ebitanda by’abalwadde,gilavu, empisao n’ebirala.
Ebintu bino byayisiddwa mu kibiina kya Reproductive Health Uganda nga kino kigendereddwamu okwongera okutumbula empereza y’emirimu.
Akulira ekibina kino e Lira Geoffrey Lapat agamba bino byakuyamba okutumbula ebyobulamu mu disitulikiti.