Ebyobulamu
China esobola okuyamba mu by’obulamu
Ebibiina by’obwannakyeewa ng’amakanda gabissa mu by’obulamu biwanjagidde eggwanga lya China okwongera ensimbi mu lutalo ku bulwadde bwa mukenenya.
Bano bagamba nti China essizza ensimbi nyingi nnyo mu nguudo nga kati bagala ate etunuulire ebyobulamu.
Omukungu mu kibiina kya AIDS Healthcare foundation Alice Kayongo agamba nti China ggwanga ddene nnyo era nga lisobola okubaako nekyerikola ku lutalo lwa mukenenya n’akafuba