Ebyobulamu

China eweze sigala

Ali Mivule

June 1st, 2015

No comments

Smoking cigarettes

Okufuuweta sigala mu bifo by’olukale mu kibuga kya China ekikulu ekya Beijing kuwereddwa.

Eggwanga lya China lirina abanywi ba sigala abasoba mu bukadde 300 nga era abasoba mu kakadde akalamaba bafa endwadde eziva ku kufuweta sigala buli mwaka.

Amateeka gabaddewo ku kunywa sigala wabula nga gabadde manafu abakulira ekibuga kino kwekuvaayo n’amapya amakakali.

Kati teri kunywa sigala nga oli mu kiriiro kya mmere, mu baasi n’ewalala mu lujudde.

Anakwatibwa nga amenye etteeka ku sigala ono wakutanzibwa Yuan 200 ze ddoola nga 21.